Numbers 25:11-13

11 a“Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, ankyusisizza obusungu bwange ne mbuggya ku baana ba Isirayiri; kubanga obusungu bwe bwabuubuuka nnyo ng’obwange olw’obutafaayo ku kitiibwa kyange, kyenvudde sibazikiriza kubamalawo. 12 bNoolwekyo mutegeeze nti, ‘Laba nkola naye endagaano ey’emirembe. 13 cYe, ne bazzukulu be bonna banaabanga mu ndagaano ey’obwakabona obw’emirembe gyonna, kubanga yasunguwalira abaana ba Isirayiri olw’okutyoboola ekitiibwa kya Katonda we, n’abatangiririra.’ ”

Copyright information for LugEEEE